Maama ow’abaana abalwadde ba nnalubiri asobeddwa
Waliwo omukyala eyatemebwako omukono, awangaala n'abaana bataano, nga babiri ku bbo balina ekirwadde kya Busonko,abangi kye bayita Nalubiri oba Sickle cell. Ekisinga okwennyamiza omu ku baana abalwadde nga wa myaka 8, yagongobala, nga kumyaka gyalina talina kyasobola kweyambamu. Eky’obulabe nti kati amaze emyezi egisoba mu ebiri nga abaana be abalwadde ba Sickle cell tebafuna ddagala, olw’okubulwa ssente ezimutwala okulinona zennyini zimwekubya mpi.