LWAKI MUNNEMESA: Kyagulanyi akukkulumidde ab’ebyokwerinda
Munna-NUP Kyagulanyi Ssentamu olwaleero abadde affeffetta kalulu mu distilukiti okuli Kagadi, Kibaale ne Hoima mu Bunyoro naye ebiremesa bibadde bingi. E Kibaale, okugeza, obutakkaanya bubadde bungi n’aby’ebyokwerinda era awo tasisinkanye bantu kubabuulira ku by’ateekateeka kukola singa anaaba awangudde obwa Pulezidenti.