Kyagulanyi olw’enkya alwetegekedde, enkoko wa kugikwata mumwa
Akwatidde ekibiina kya national Unity Platform bendera ku bwa pulezidenti Robert kyagulanyi agamba eky'obutamalaawo disitulikiti zonna mu kampeyini ssikyakumulemesa buwanguzi kubanga bannayuganda azze abatuusaako obubaka bwe emyaka mingi emabega naddala nga ayita mu nyimba ze. Mu mboozi eyaakafubo, Kyagulanyi era atutegezezza nga bwaggya okukkiriza abinaava mu kalulu ssinga kanaaba kabwerufu wadde nga tasuubirayo kuwangulwa . Abantu 11 bebesimbyewo ku bwa Pulezidenti okuli ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.