KATURAMU ALYA BUTAALA: Ab’e Tooro baliko bye boogedde
Obukama bwa Tooro busanyukidde ekyeyali Omuhiikirwa wa Tooro John Sanyu Katuramu okuyimbulwa kuva mu kkomera oluvanyuma lw’okumala emyaka amakumi abbiri mu Kkomera. Katuramu yasingisibwa omusango gw’okutta omulangira Happy Kijanangoma wamu n’omukuumi Stephen Kaganda. Ab’oluganda lw’omulangira Happy Kijanangoma bagamba beetegefu okutuula ne Katuramu abetondere, batambuze obulamu obujja