Kabaka agguddewo olukiiko lwa Buganda olwa 29, avumiridde enguzi eyeeyongedde
Sssaabasajja asiimye enkya ya leero nagulawo olukiiko lwa Buganda olwa 29. Omutanda asinzidde Bulange Mengo n'avumirira obuli bw'enguzi bwagamba nti buviriddeko n'okusanawo kw'obutonde bwensi. Kabaka agamba bingi ku bibira bisanyiziddwawo wamu n'ettaka ly'entobazi kyoka newatabaawo avunaanibwa . Ono era asabye abaganda okusaabulula ebigambo byobukyayi ebyogerwa ku Buganda. Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga akalaatidde abaami b’amasaza n’abakiise b’olukiiko abagya okusigala nga bawulize eri Namulondo wakati mu kusoomozebwa okutali kumu.