JACOB OULANYAH: Wiiki ejja ku lw’okutaano lwaziikibwa, lwa kuwummula
Kikakasiddwa ng'eyali Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanya bwagenda okuzikibwa ku lw'okutaano lwa wiiki ejja. Gavumenti leero efulumiza entekateeka enzijjuvu ku kukungubagira nokuziika Jacob Oulanya . Minisita avunanyizibwa ku nsonga z'obwa Pulezidenti era nga yakuliddemu entekateeka z'okuziika Milly Babalanda asabye bannayuganda baleme kutunulira kyansimbi zigenda kukozesebwa , wabila ekitiibwa kya Oulanyah nga abadde sipiika saako okumuwa enziika emugwanidde.