Gav’t bagyongedde ennaku 4 okuleeta Luggya Kayingo nga mulamu oba mufu
Pulezidenti w’ekibiina ki Uganda Federal Alliance Dr. Luggya Kayingo agambibwa okuba nga yabuzibwawo abantu abatannaba kutegeerekeka olwaleero taleeteddwa mũ kkooti nga bwekibadde kisuubirwa. Kinajjukirwa nti ku Monday ya wiiki eno omulamuzi wa kkooti enkulu Collins Acellam yayisa ekiragiro eri ebitongole by'eby’okwerinda ne ssaabawolereza wa gavumenti okuleeta Luggya mu kkooti olwaleero oba nga mulamu oba nga mufu.