Owa PFF eyafudde: Poliisi erinnye eggere mu kwekalakaasa kw’abayizi
Poliisi ye Mbarara eremesezza abayizi ba Bishop Stuart Universty ababadde bategese okutambuza omubiri gw'eyali omukulembeze waabwe Denmark Bainomugisha era nga munnakibiina ki PFF, eyafudde olunaku lw'eggulo oluvannyuma lwokuseerera n'agwa ku maddaala ga woteri emu esangibwa mu kibuga Mbarara. Embeera eno yazze oluvannyuma lw'abakulu ku ttendekero lino okugaana okuyingiza omubiri gw'omugenzi munda okumusabira ekintu ekyatanudde abayizi, nga bebuuza lwaki ye bamugaanye ate nga kyebakoze kizze kikolebwa ku buli muyizi waabwe aba afudde.