Okukwatira NUP bendera: Poliisi eremesezza aba NUP okusonda ssente e Mubende
Olwaleero akakiiko k’ekibiina ki NUP akakola ku by’okulonda katandise okusunsula abeegwanyiza okukwatira ekibiina bendera ku kulonda kwa 2026 nga kakano amakanda bagasimbye mu bitundu ebyesudde kampala. E Masaka abantu abakunukkiriza mu 2,000 bebakungaanye okuva mu disitulikiti 10 ezikola ebbendobendo lino. Ate yo e Mubende poliisi egaanye bannakibiina kino okutegeka omukolo ogw’okusonda ssente ez’okuddukanya kakuyege waabwe, nga bagamba nti tebaafunye lukusa okuva eri aduumira poliisi mu ggwanga.