Ebyava mu kamyufu : Akakiiko ka NRM kafulumizza ensala endala 45
Akakiiko ka NRM akateekebwawo omukulembeze w'eggwanga okwetegereza okwemulugunya okuva mu kamyufu kongedde okufulumya ensala endala 45 mu misango gye kabadde katunuulira ennaku eziyise Nga bwe gwali luli ensala zino zisindikiddwa ku E-Mail . Akakiiko era kalabudde abo bona abakozesa olukujjukujju nebajja sente kubanakibina ngabasubiza nti bakubawa ensala zaabwe okuva mu kakiiko.