Kkooti egobye okusaba kwa Besigye ne Lutale okw’okweyimirirwa
Omulamuzi wa kkooti enkulu Emmanuel Baguma olw’eggulu lwa leero awadde ensalaye ku kusaba okwabadde kukoleddwa bannamateeka ba Dr Col Kizza Besigye ne munne Obed Lutale nga baagala bayimbulwe ku kakalu ka kkooti kubanga bamaze ku alimanda ennaku ezisoba mu 180. Mu nsalaye, omulamuzi agambye nti Besigye tannaweza nnaku 180 ku alimanda nga bannamateeka bwe bagamba, kale nga amaanyi bagateeke ku ngeri ya kuwoza musango ogwokulya mu nsi olukwe Besigye gwavunaanwa, sosi kumujja mu kkomera. Ensala ya kkooti bannamateeka ba Besigye bagiwakanyizza.