Akalulu ka 2026: UPDF yeeweredde abeesomye okukola effujjo
Amagye g'eggwanga galabudde abo bonna abeesomye okukola effujjo mu biseera by'akalulu ka bonna aka 2026 . Okusinziira ku mwogezi w'amagye Maj. General Felix Kulayigye, amagye si gakukkiriza mbeera yonna egenda kutaataaganya kulonda yadde okutabangula emirembe mu biseera by'akalulu. Kulayigye alabudde ne bannabyabufuzi abalina abakuumi nga bannamagye ababakozesa okugezaako okutaataaganya okulonda.