Njagala bwenkanya: Omusomesa eyawummuzibwa oluvannyuma lw’akabenje alojja
Waliwo omusomesa alaajana oluvannyuma lw’okufuna akabenje ng’agenda ku ssomero li Sir Apolo Kwaggwa Primary school ettabi erye Kira, kyokka bakamaabe ne bagaanira ddala okumujjanjaba. Ono agamba nti afubye okwekuba ku baali bakamaabe, kyokka bamwebalama-nga kakano eyali omusomesa ow’ebbaluwa kati emirimu akola gya lejjalejja.