Eyatulugunyizibwa owa SFC aliira ku nsiko
Waliwo omusajja eyeekubidde enduulu ng'agamba nti waliwo abamutambulirako oluvannyuma lw'okusibisa omujaasi w'eggye erikuuma omukulembeze w'eggwanga li SFC gwalumiriza okumutulugunya ng'amukuba emisumaali mu luba ne mu mugongo. Samuel Nuwamanya ye yeekubidde enduulu ng'agamba nti banne b'omujaasi ono bamutiisatiisa okumutuusaako obulabe nga mu kiseera kino n'amaka ge yagaddukamu. Omwogezi wa SFC Maj. Jimmy Omara akakasizza nti ddala omujaasi Nuwamanya gw’alumiriza Medard Besigye ali mu nkomyo era ng’alinidiridde kusimbibwa mu kkooti abitebye.