ETTEMU N’OBUBBI KU ARUA PARK :Mukaaga gubasse mu vvi
Kkooti enkulu mu Kampala esingisizza omusango gw'obutemu abantu mukaaga . Bano beebatta bannansi ba south Sudan babiri mu mwaka gwa 2018 mu Juba Hotel ku Arua Park wano mu Kampala . Bano tebakoma ku kyakutta kyoka wabula n'okunyaga . Omulamuzi Steven Mubiru yabategeezeza nga obujjuliuzi obwaleetebwa bwebukakasa nti ddala benyigira mu ttemu lino.