ETTEMU E KARAMOJA: Ab’enganda z’abattiddwa baliko byeboogedde
Amaka g’abantu abattiddwa abagambibwa okuba abanyazi b’ente mu Karamoja gakyali mu nyiike, olw’eby’atuuse ku baagalwa baabwe. Richard Kiggwe, Charles Olweny ne Edna Musiime nga abadde muyizi e Makerere bakubiddwa amasasi wamu n’abajaasi ba UPDF babiri. Ab’enju ya Richard Kiggwe batubuliidde nti nga agenda e Karamoja ewaka era yaleka bafiriiddwa era n’okuziika teyaziika.