Ettemu e Kamuli, waliwo omulonzi akubiddwa amasasi
Poliisi mu disitulikiti y’e Kamuli eriko omuntu omu gw’ekubye amasasi agamusse, ng’emulanga kugezaako kulumba maka g’omubaka wa Buzaaya Martin Muzaale n’ekigendererwa ekyokumutusaako obulabe.Sowedi Egumbye yakubiddwa amasasi agamusse, nga kigambibwa nti ng’ali wamu ne banne baalumbye amaka ga Muzaale ne batomera geeti, nga mu kugezaako okubatangira poliisi n’emukuba amasasi agamusse.Poliisi etugambye nti obulumbaganyi buno bwekuusa ku nkayana za byabufuzi.