ETTEEKA LY’EBIBIINA BY’OBUFUZI:Ababaka bagamba ennongoosereza zigenderera kunyigiriza NUP
Palamenti etandise mu butongole entekateeka z’okukola engosereza mu teeka erirungamye ebibiina byobufuzi mu ggwanga li Political Parties and Oragnisations Amendment Bill 2025, nga lino olwaleero lyanjudde eri palamenti omundi ogusookedde ddala.
Okusinziira ku mubaka Faith Nakuti etembeeta ebbago lino, ogumu ku mulamwa omukulu gwa kubonereza bibiina bya bufuzi ebitakaanya na mikago egyibitaba nga National Consultative Forum ne Inter-Party Organisation for Dialogue (IPOD)
Singa linaayisibwa nerifuuka eteeka, ebibiina nga National Unity Platform ebitakaanya ne mikago gyino tebigenda kuddamu kuvujjirirwa gavumenti nga bwegubadde.