ETTEEKA KU BISIYAGA :Ebitongole binnakyewa bigamba teryetaagisa
Ababaka ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku by\'amateeka bategeezezza ng'omuli gwabwe bwe guli ogwokubaga amateeka agagenderera okuyamba bannayuganda Kino kiddiridde ab'ebitongole binnakyewa okutegeeza ng'etteeka ku bisiyaga bweritetaagisa kubanga lyolekedde okwongera omugugu ku kitongole kya poliisi Ab'ebitongole bano leero balabiseeko mu kakiiko kano ne basaba etteeka lino lijjululwe kubanga ebiririmu birambikiddwa mu mateeka amalala agaliwo.