ETTAKA LYE NAKAWA-NAGURU: Abaaliko baminisita ba Kampala baakuyitibwa mu kakiiko
Abaali ba Minisita mu minisitule ya Kampala n'eyattaka bebamu ku basubirwa okweyanjula eri akakiiko ka palamenti akenjawulo akatereddwawo okunonyereza ku mivuyo ku ttaka erya Naguru- Nakawa. Akakiiko kagala okuzuula engeri abantu sekinoomu gyebafuna obwananyini ku ttaka lya gavumenti ate abantu abaali baliberako mu kusooka nebalekebwa ebbali.