ENTEEKATEEKA Z’OKUZIIKA CHARLES ENGOLA :Amagye kati geegali mu kuzimba entaana
Mukiseera kino ggo amagye gaabakanye dda n'ogwokuzimba entaana mu kitundu kya Oyam North ku kijja omugenzi Charles Engola gy’agenda okuziikibwa era nga gatubuulidde nti webunaazibira enkya nga omulimu guwedde .
Ate Bbo abakungubazi babadde ku TV mu maka g'omugezni gano nga bagoberera ebigenda mu maaso e Kololo mukumukungubagira.
Omugenzi Charles Engola waakuziikibwa ku lw’omukaaga lwa ssabiti eno.