ENTEEKATEEKA Z’OKUBALA ABANTU: Aba UBOS basabye katikkiro abayambeko mu kukunga abantu
Abantu ba Buganda bakubiriziddwa okujjumbira enteekateeka y'ekitongole ky’eggwanga ekyebibalo ki Uganda Beaurau of Statistics oba UBOS ey’okubala abantu etandika nga 10 omwezi ogwokutaano omwaka guno.Bino bibadde mu nsisinkano abakulu mu Kitongole kino gyebabaddemu ne Katikkiro olwaleero.Aba UBOS era basabye Kabaka asiime ye n'abolulyo olulangira babalibwe.