Enteekateeka y’empaka z’amasaza eyanjuddwa
Oluvanyuma lw’amasaza ga Buganda gonna 18 okuyingira mu mpaka z’omwaka guno kati abategesi basazewo nti buli kibinja kyakuwebwa enaku nya zokka okuzannya emipiira gyakyo mu kisawe kya FUFA e Njeru. Mu kino bagendereramu kwewala kukungaanya bantu bangi obutasasaanya kirwadde ki covid-19. Ekibinja Butikiro omuli banantameggwa b’empaka zinno ab’omwaka oguwedde ab’ebulemezi, Singo, Mawogola, Butambala ne Bululi kyekigenda okusookayo nga 11 omwezi ogujja nga omutesitesi Samuel Mpiima bwanyonyola.