Enkuba erimu omuzira eyonoonye ebirime e Busia, abaayo basobeddwa
Namutikkwa w'enkuba eyabaddemu ne muzira eyatonnye mu bitundu bye Busia olunaku lw'eggulo alese ennimiro z'abantu mu magombolola 5 nga ziri ku ttakaWaliwo n'abantu babiri abapookya n'ebiwundu oluvannyuma lw'okukubwa omuzira.Bano kati beeraliikirivu nti singa tewaba kikolebwa kubaddukirira mu bwangu, boolekedde okulumbibwa enjala.