Enkambi y’ababundaabunda e Nyakabadde esigazza omwezi gumu eggalwewo
Gavumenti ya Uganda etegeezezza nga bwewadde abanoonyi b’obubudamu abali mu kifo webatuukira e Nyakabande mu disitulikiti ye Kisoro omwezi gumu gwokka okukyamuka bakirize okutwalibwa mu bifo gyebalina okukuumirwa kubanga ekifo kino kigenda kuggalwawo. Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku banoonyi b’obubudamu n’ebigwa bitalaze Ester Anyakun agamba nti abanoonyi b’obubudamu abasoba mu 1,2000 bakyalemedde e Nyakabande nga tebaagala okutwalibwa mu nkambi zababundabunda endala.