ENKALU KU TTAKA E KYANKWAZI: Minisita Mayanja aliko gw’alagidde akwatibwe
Minisita omubeezi ow'ebyettaka Sam Mayanja aziza Faustine Ntambala ku ttaka lye mu Rwengiri mu disitulikiti ye Kyankwanzi . Kino kidiriddde ono okugobwa ku ttaka lye Davis Mugabi amanyiddwa enyo nga safari natuuka nokumenya enyumba ze zeyali yazimba mu kitundu kino .Minisita yalesse alagidde Davis Mugabi okukwatiibwa olwokukozesa olukujukujju neyezza ettaka lino mu bukyamu .