ENJALA E KARAMOJA: Embeera etabuse, abatuuze byebasanga bye balya
Abakulembeze mu district ye Napak bagamba nti enzige ezaziingako ekitundu kyabwe mu 2020, amataba, ekyeeya n'okutatagaanyizibwa a bakambwe ababbi b'ente byebimu kubibaviiriddeko enjala mu kitundu kyabwe, kubanga bangi tebasobola kulima sako n'okukungula nga bwegutera okubeera. Abakulu mu kitundu kino batubuulidde nti abantu abakafa enjala basuka mu makumi Ana era nga betaaga buyambi. Tubadde ko mu district ye Napak era nga abantu balabika ddala bali bubi