ENGUUDO EMBI E KALUNGU: Abatuuze bagamba abakulembeze baabwe tebafuddeeyo
Abatuuze mu district y'e Kalungu, bagamba nti abakulembeze baabwe basusse okugayaalirira enguudo embi ezijudde mu zimu ku ggombolola z'omukitundu kino. Bano bagamba nti enguudo na ddala mu ggombolola ye Bukulula ne Lwabenge kumpi tezikyayitikamu wabula nga abo abazivunaanyizibwako nabo besuuliddeyo gwa nnagamba. Obukulembeze ku district y'e Kalungu bukyali mu kuyuuga olw'enkyukakyuka ssentebe zeyakola gyebuvuddeko neziviirako olukiiko lwa ba kansala okwetemamu.