EMBEERA Y’ENGUUDO MU KAMPALA :Minisita Kyofatogabye awadde essuubi kukuziddaabiriza
Minisita omubeezi ow'ekibuga Kampala Kabuye Kyofatogabye agumizza banna KampalaYeyamye nti omwaka wegunagwerako nga nyingi ku nguudo ziddaabiriziddwa . Okwogera bino minisita Kyofa abadde atongoza okudabiriza kw'oluguudo lwa Katuuso rise, mu divizoni y'e Makindye, olugenda okumalawo miriyooni lukumi mu bina, ng'emirimu gyakukulungula emyeezi mukaaga. Oluguudo luno luweza mita lukaaga, nga lugenda ku kolebwa kampuni ya Lina Construction limited.