EMBALIRIRA YA 2022/23: Ebitundu 34% bigenda kukusasula mabanj
Kitegerekese nti sillingi 34 ku buli 100 ez’embalirira y’omwaka ogujja, gavumenti egenda kuzisaasaanya mu kusasula amabanja gezze yeewola. Kino kitegeeza nti bannansi n’abakozi ba gavumenti balina okwenyweza kubanga ssente ezikola emirimu emirala egitambuza eggwanga zigenda kukendeerera ddala.