EMBALIRIRA YA 2022/23: Ab’oludda oluvuganya gavumenti ssi bamativu
Ab'oludda oluvuganya sibamativu n'engeri ensimbi eziri mu mbalirira y'omwaka gw'ebyensimbi ogujja gyezigabanyiziddwamu . Bano bagamba nti ensimbi eziteekeddwa mu kukulaakulanya eggwanga ntono ddala bwogerageranya n'ezo ezitereddwa mu kusasula amabanja, emisaala gy'abakozi ba gavumenti n'okuyimirizaawo gavumenti.