EKIRWADDE KYA NNALUBIRI: Waliwo abazadde abayita mu kusoomoozebwa
Ng'eggwanga lijjukira olunaku lw'okwefuumitiiriza ku bulwadde bwa Nnalubiri olwaleero, okunoonyereza kulaga nti amaka agalimu abaana abalina obulwadde buno, abazadde kizibu okuwangaaza omukwano.Celine Nalwanga, ng’alina abaana ba Bbiri nga bonna balina obulwadde bwa Nalubiri yayawukana ne bba olw'embeera y'abaana gye bazaalibwa nayo era nga mu kiseera kino ayita mu bugubi okubabezaawo.Ono aliko by'agala gavumenti esse mu nkola okumalawo eky'okuzaala abaana ekikula kino.