EKIKWEKWETO KU BIDDUKA: Leero poliisi etabukidde abongeramu obutaala
Ebikwekweto okufuuza abagoba b’ebidduka abakozesa ekkubo mungeri emenye amateeka naddala abavuga emmotoka z’ebitongole bya gavumenti bikyagendera ddala mu maaso okusinziira ku poliisi. Mu bikwekweto ebikoleddwa olwaleero poliisi essira eritadde ku mmotoka z’abantu baabulijjo ezirina obutaala obumyansa ng’obutera okukozesebwa ab’ebyokwerinda so nga n'ezirina Spot lights tezitaliziddwa.