EDDWALIRO LY’E LUBOWA: Olunaku Palamenti lweyakkiriza gavumenti yeewolere musigansimbi
Omubaka wa Nakaseke South Luttamaguzi Ssemakula agamba nti singa gavvumenti yabawuliriza ku by'eddwaliro ly'e Lubowa, ssente z'omuwi w'omusolo zanditaasiddwa. Mu alipoota eyabatono eyayanjulwa omubaka wa Butambala Muhammad Muwanga kivumbi ku lunaku palamenti lweyakkiriza gavumenti okwewolera musiga nsimbi Enrika Pinetti ssente z'okuzimba eddwaliro lino, waliwo ababaka abalabula ku biyinza okukivaamu. Omusasi waffe Juma Kirya katuddizeeyo akatambi k'ebyaliwo ku lunaku palamenti lweyakkiriza gavumenti okwewola obukadde bwa ddoola 379 okuzimba eddwaliro.