EDDEMBE LY’ABAANA : Busoga yeesingamu abaana abakozesebwa emirimu gy’ensimbi
Gavumenti ekunze bannayuganda okulwanyisa omuze gw'okukozesa abaana emirimu gy'ensimbi ng'egamba nti kuba kulinnyirira ddembe lyabwe. Nga Uganda eteekateeka okwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw'abaana abakola emirimu egivaamu ensimbi ku ssande eno kizuuse nti abaana ebitundu ku buli kikumi tebaddayo ku ssomero ng'okusoma kuzzeemu. Minisitule y'ekikula ky'abantu eteebereza nti bangi ku baana abataddeyo ku ssomero bali mu mirimu egivaamu ssente.