Ebyo bibye ng'omuntu; aba PFF mu Ankole beesambye ebikolwa bya Gen. Muhoozi
Ab’awagira ebyokuwandiisa ekibiina ki People Front for Freedom nga beebeekutula ku FDC y'e Najjanankumbi, ab’ekitundu kye Ankole ne Kigezi beesambye ebikolwa bya ssaabaduumizi w’amagye Gen. Muhoozi Kainerugaba ebyekuusa ku kuwamba n’okutulugunya Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe kko n’okumukaka okuyiga olulimi olunyankole Bano bavumiridde ebikolwa bino bye bagamba nti tebitwala ggwanga mu maaso Bano bennyamidde n’olwemivuyo egyeyolekedde mu kamyufu ka NRM ku byalo era nebasaba bannayuganda okugivumirira gireme kulabikira mu kalulu ka bonna aka 2026.