EBIRAGIRO KU NTAMBULA: Ab’ebyobulambuzi beetegese okubigondera
Abali mu mirimu egikwatagana obuteereevu n'ebyobulambuzi omuli n'abaddukanya woteeri bagamba nti baakugondera ebiragiro ebyayisiddwa omukulembeze w'eggwanga okwerinda covid-19. Bano bagamba nti okwawukanako n'omuggalo gw'omwaka oguwedde, ku mulundi guno balina omukisa okusigala nga bakola. Akulira abaddukanya zi woteeri Jean Byamugisha alabudde ab'ebyobulambuzi ku kabi akali mu kuziimuula ebiragiro ebyayisiddwa naddala ku mmotoka z'abalambuzi .