EBIKOLWA EBY’OKUTULUGUNYA: Waliwo omukazi alumiriza abeby’okwerinda
Waliwo omukyala avuddeyo okwekubira enduulu olw’ebigambibwa nti yawambibwa era n'atulugunyizibwa abantu baalumiriza okubeera ab’ebyokwerinda. Ono alumiriza nti bamusobyako. Alexandria Marinos nga mutuuze we Mbuya - Kinawattaka mu kiseera kino anyiga biwundu era atutegezezza nga bweyagezaako okuloopa omusango ku poliisi naalemesebwa nga kati obulamu bwe buli mu katyabaga. Abaamagye baganye okubaako kyeboogera ku nsonga eno okutuusa nga obukakafu buleeteddwa nti abaali emabega wekikolwa kino baali baabwe.