EBBUGUMU LY’EBYOBUFUZI: Gavumenti erabudde ku batandise kampeyini
Gavumenti erabudde bannabyabufuzi naddala ababaka ba palamenti abakasunsulwa akakiiko k'ebyokulonda okwewala okukuba enkungana n'ebintu ebirala ebimenya amateeka gw'okutangira ekirwade ki COVID 19 okusasaana. Bino byogeddwa minisita w'ebyamawulire n'okulungamya eggwanga era omubaka omukyala owa Mityana Judith Nabakooba nategeza nga bano bwebalina okulinda akakiiko k'ebyokulonda kayise entekateeka empya enakiriza enkungaana ez'abantu abangi. Nabakooba okwogera bino abadde mulukungana lw'abannamawulire olwa buli wiiki ku ofiisi ze wano mu Kampala.