Bbaasi za pioneer: Okuzijja e Namboole baagala obuwumbi 25
Alipoota esomeddwa kamisona wa palamenti Mathias Mpuuga ekwata ku byazuuliddwa ku mirimu egigenda mu maaso ku kisaawe ky’e Namboola ekirambise nti abaddukanya kampuni ya Pioneer Easy Bus baagala obuwumbi 25 ez’okubaliyirira bwebaba nga bakuvaawo kubanga baliko endagaano gyebvakola nebannanyini ttaka . Kyokka Minisita omubeezi ow’ebyemizannyo Peter Ogwang, agamba nti bus zino terinza lukusa kubeera ku ttaka lyabwe era nga nabo babanja banyinni baasi zino obukadde 157 olw’okuzisimba wano era nga babatwala ne mu kkooti nga bagala ziveewo. Bino bibadde ku palamenti.