Banna NRM e Nakawa East bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okusanga nga tebali mulukalala lw’abalonzi
Bannakibiina ki NRM mu Nakawa East bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okusanga nga tebali mulukalala lw’abalonzi.Bagamba nti bewandiisa naye kyandiba nga bajiddwamu kusawa esembayo.Embeera eno tetaliza na David Kintu ng’ono yabade avuganya ne Fredrick Ruhindi kuky’omubaka wa Nakawa East.Ono aganiddwa okulonda wabula neyerayirira nga bwalina okwesimbawo mũ kalulu kabona.