ATAKULABA: Abawala baabafumbiriranga nga bagenda mu bufumbo
Ensangi zino omuwala ng’agenda okufumbirwa asobola okuva ku mulimu eggulo limu enkeera n’eyesogga ekidaala. Kyoka mu merembe egyayita ng’omuwala bwaba agenda okufumbirwa, basooka kumufumbirira okumala ennaku eziwera ng’ali eyo mu kisenge tafuluma okujjako okumunaaza n’okumusiiga omuzigo oba ebizigo. Jamila Mawaazi gwetwali naye sande ewedde gwetuzizza n’olwaleero ng’anyumya engeri gyebamufumbirira okumala sabiiti namba nga ng’eno bwebamukoleza emmere gyeyalyanga. Ataakulaba.