AMASANNYALAZA GAKYANKALANYE: Babiri bafudde e Najjanankumbi, ebintu nabyo biyidde
Waliwo abantu babiri abafudde e Najjanankumbi oluvannyuma lw’okukubwa amasanyalaze mu nkuba ekedde okutonnya olwaleero. Bano kuliko Omwana ow’emyaka ena ategeerekese nga ye Chloe Nakayenga n’e munnansi wa Eritrea ategeerekese nga Melon Negase atemera mu gy’obukulu nga 24. Bino bibadde ku byalo bibiri okuli Busaabala Road Zone ne Church Zone era nga kivudde ku kukyankalana kw’amasannyalaze okuviiriddeko waya okukutuka n’ezigwa ku ttaka.