Amama Mbabazi avumiridde ebikolwa eby’okutulugunya abantu
Eyaliko Ssabaminisita wa Uganda John Patrick Amama Mbabazi avumiride ebikolwa ebyokutulugunya abantu ebigenda mu maaso mu ggwanga nategeeza nga eyo bwetali nkola ya NRM. Nga ayogerako nebbannamawulire mu makaage e Kololo Mbabazi ategeezeza nga bwaliko n'ogufo gweyakoonodde nga gwakuyamba mu kunoonya amagezi agagonjoola ensonga ku ssemazinga w'africa.