ALEMEDDE KU ALIMANDA EMYAKA 22: Ssabawaabi wa gavumenti anoonya fayiro eyabula
Ofiisi ya Ssaabawolereza wa Gavumenti etegeezezza nga bwegenda okunoonya fayiro y'omusajja amaze ku alimanda emyaka 22 ku musango gw'obutemu naye nga tawozesebwanga. Alex Twinomugisha yekubira enduulu mu kkooti nga agamba nti amaze emyaka gino gyonna nga tawozesebwa, so nga n'emisango tegimuvunaanwa nga.