Akamyufu mu Greater Luwero: Abamu ku babaka ababaddeko babamezze akalulu
Kaweefube w’okwezza ebifo by’ababaka ba Palamenti eri NRM mu kitundu ky’e Luwero ekimanyiddwa nga Mecca y’ekibiina kino ayolekedde olusozi gambalagala olw’obutali bumativu bw’abavuganyizza mu kamyufu k'ekibiina nga balumiriza nti kasusse okubaamu emivuyo. Ssentebe wa NRM mu District y’e Luwero Sam Buchanan ekibiina kye akikomeredde emisumaali olw’okulemererwa okutegeka akalulu ak'amazima n’obwenkanya. Buchanan agamba nti bangi abajaganya nga bwebawangudde kaadi y’ekibiina obuwanguzi bwabwe bwa mankwetu. Herbert Kamoga akunyanyizza ebibade mu bendobendo lya Luwero mu kamyuufu k’ekiiina kya NRM, era kaatuwe ebisingawo.