Akamyufu e buvanjuba: Akadde k’okulangirira abawanguzi kabadde ka katuubagiro
Okulonda abanaakwatira NRM bendera mu bitundu by’obuvanjuba bw’eggwanga kwabadde kwa kaasa meeme, songa era waabaddewo akatuubagiro mu kadde k’okulangirira abawanguzi. Mu disitulikiti naddala eye Kamuli abamu ku baawangudde baalagiddwa okusooka okugendako ku kitebe e Kyadondo - babeeko bye bakkaanyaako n'abakulu.