Akakiiko k'eby'okulonda kakoze enkyuukakyuuka mu nteekateeka y'eby'okulonda eya 2026
Akakiiko k'eby'okulonda kaliko enkyuukakyuuka ze kakoze mu nteekateeka yaako ey'eby'okulonda nga beetegekera akalulu ka 2026. Mubikyuse mwe muli n'ennaku z'omwezi ez'okusunsulirako abeegwanyiza ekyobukulembeze we ggwanga, okuva ku nnaku z'omwezi 2 ne 3omwezi ogwekkumi okudda ku nna 23 ne 24 omwezi ogwomwenda. Okusinziira kwakulira akakiiko kano, Dr simon Byabakama, enkyuka kyuka zino zigendereddwamu okuwa abeegwanyiza ekyobukulembeze bwe gwanga obudde obumala okukunga obuwagizi mu bannayuganda