Abayizi b’e Makerere basula njala, abasasulirwa gav’t tebannaweebwa ssente za kwegulira mmere
Kitegeerekese nga abamu ku bayizi abasasulirwa gavumenti ku Yunivaasite ye Makerere bwe bagenda enjala olwa Yunivaasite eno okulemererwa okubawa ensimbi ezibayambako okutambuza obulamu. Bano kati beekubidde enduulu nga bagamba nti bamaze ebbanga nga tebafuna ssente zino ekivuddeko n’abamu okugobwa mu bisulo olw’okulemererwa okusasula ebisale. Abatwala Yunivaasite eno batubuulidde nti bali mu katu k’ensimbi nga kyava ku kusala embalirira yaabwe ey’emyaka gy’ebyensimbi 2023/2024 ne 2024/2025 .