Abantu 15 abagambibwa okuba nga beebabadde benyigidde mu butujju basimbiddwa mu kkooti
Abantu 15 abagambibwa okuba nga beebabadde benyigidde mu kukola bbomu, okuzitega, n'okuzitulisa mu bitundu omuli Kampala, Wakiso ne Mpigi basimbiddwa mu kkooti olwaleero. Bano nga kubaddeko abakazi bataano basimbiddwa mu maaso g'omulamuzi w'eddaala erisooka Asuman Muhumuza nebasomerwa emisango mukaaga. Kigambibwa nti wakati wa 2017 ne 2021 bano baatega bbomu nekigendererwa ekyokutta n'okulumya ,saako okugotaanya ebyenfuna byeggwanga.